Jeremiah 40:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati akaleese nga bwe yali agambye okukola. Ebyayogerwa bino kyebyava bibatuukirira, kubanga Omukama mwamusobya, mwagaana okuwulira eddoboozi lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano Mukama akireese era akikoze nga bwe yasuubiza. Bino byonna byabaawo kubanga abantu bo baasobya eri Mukama ne batamugondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama abutuukiriza, era akoze nga bwe yayogera; kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lye, ekigambo kino kyekivudde kibatuukako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era akatuukirizza nga bwe yagamba okukola. Bino byonna biguddewo, kubanga abantu bo baayonoona mu maaso ga Mukama, era baamujeemera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okuleeta Mukama abuleese, era akoze nga bwe yayogera; kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lye, ekigambo kino kyekivudde kibatuukako.