Jeremiah 40:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba nno, olwa leero nkusumuludde enjegere ezikubadde ku mikono; bw'oba oyagala jjangu tugende e Babiloni; nzija kukulabirira. Bw'oba nga tokisiimye, tojja nange; laba, ensi yonna yiiyo ekuli awo mu maaso, laga yonna gy'olaba nga ye walungi oba awatuufu okulaga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye leero nkusumulula okuva mu njegere ez’oku mikono gyo. Jjangu tugende ffembi e Babulooni obanga oyagala, nnaakulabirira; naye bw’oba nga toyagala, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go, genda yonna gy’oyagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, laba, nkusumulula leero mu masamba agali ku mukono gwo. Oba ng'osiima okujja nange okugenda e Babbulooni, jjangu, nange nnaakukuumanga bulungi; naye oba ng'okiyita kibi okujja nange e Babbulooni, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go; gy'osiima okugenda era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, laba, nkusumululako enjegere ezisibye emikono gyo. Bw'oyagala okugenda nange e Babilooniya, jjangu tugende, era nja kukulabiriranga bulungi. Naye bw'oba nga toyagala kugenda nange e Babilooni lekayo. Laba ensi yonna eri mu maaso go. Yonna gy'osiima okugenda, era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, laba, nkusumulula leero mu masamba agali ku mukono gwo. Oba ng'osiima okujja nange okugenda e Babulooni, jjangu, nange naakukuumanga bulungi; naye oba ng'okiyita kibi okujja nange okugenda e Babulooni, lekayo: laba, ensi yonna eri mu maaso go gy'osiima okugenda era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda.