Jeremiah 40:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yeremiya aba tannakyusa kuddayo, n'amugamba nti: “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, kabaka w'e Babiloni gwe yawa okufuga ebibuga bya Yuda, obeere naye eyo mu bantu. Oba genda awalala wonna w'olaba nga we watuufu okulaga.” Omukulu w'abakuumi n'awa Yeremiya emmere n'ekirabo, n'amusiibula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula Yeremiya nga tannaba kukyuka kugenda, Nebuzaladaani n’ayongerako nti, “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w’e Babulooni gw’afudde Gavana w’ebibuga bya Yuda, obeere naye mu bantu, oba genda yonna gy’osiima okubeera.” Awo omuduumizi w’abambowa n’amuwa ebyokulya n’ekirabo n’amuleka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'osigala, Ddayo nno eri Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w'e Babbulooni gw'awadde okufuga ebibuga byonna ebya Yuda, obeere naye mu bantu; oba oyinza okugenda yonna gy'osiima okugenda.” Awo omukulu w'abambowa n'amuwa eby'okulya n'ekirabo, era n'amuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba nti: “Oyinza okuddayo eri Gedaliya, mutabani wa Ahikaamu era muzzukulu wa Safani, kabaka wa Babilooniya gw'awadde okufuga ebibuga bya Buyudaaya, oyinza okusigala naye mu bantu, oba oyinza okulaga awalala yonna gy'oyagala.” Awo omuduumizi w'eggye n'ampa ebyokulya, n'ekirabo, n'anta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali nga tannaddayo, n'ayogera nti Ddayo nno eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani Safani, kabaka w’e Babulooni gw’awadde okufuga ebibuga bya Yuda, obeere ewuwe mu bantu: oba genda yonna gy'osiima okugenda. Awo omukulu w'abambowa n'amuwa ebyokulya n'ekirabo n'amuta.