Jeremiah 40:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yeremiya n'alaga e Mizupa, eri Gedaliya mutabani wa Akikamu, n'asigala naye wamu n'abantu abaalekebwa mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeremiya n’agenda ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa n’abeera naye n’abantu abaaliyo abaali balekeddwa mu nsi eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'agenda eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, n'abeera naye mu bantu, abaali basigadde mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋenda eri Gedaliya e Mizupa, ne mbeera naye mu bantu abaalekebwa mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'agenda eri Gelaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, n'abeera ewuwe mu bantu abaali basigadde mu nsi.