Jeremiah 40:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagabe bonna ab'eggye ne basajja baabwe abaali basaasaanye eyo mu byalo, bwe baawulira nga kabaka w'e Babiloni ataddewo Gedaliya mutabani wa Akikamu y'aba afuga ensi, ng'amukwasizza abasajja, abakazi, abaana abato, be bantu abankuseere mu nsi eyo abaali batawaŋŋangusiriziddwa Babiloni,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakulu b’eggye lya Yuda bonna n’abasajja baabwe abaali bakyali mu byalo ne bawulira nti, Kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya omwana wa Akikamu okuba Gavana w’ensi era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa bw’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana, n’abaali basembayo obwavu mu nsi abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo, ne basajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w'e Babbulooni awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu okufuga ensi, era ng'amukwasizza abasajja n'abakazi n'abaana abato, abo abasinga obwavu mu nsi, abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babbulooni;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakungu abamu abaali mu byalo ne basajja baabwe, ne bawulira nga kabaka wa Babilooniya awadde Gedaliya mutabani wa Ahikaamu okufuga ensi, n'okulabirira abantu abasingirayo ddala obwavu, abataatwalibwa Babilooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo, bo n'abasajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni awadde Gelaliya mutabani wa Akikamu okufuga ensi, era ng'amukwasizza abasajja n'abakazi n'abaana abato ne mu abo abasinga obwavu mu nsi, ku bo abataatwalibwa e Babulooni nga basibe;