Jeremiah 40:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bajja ewa Gedaliya e Mizupa; baali Yisimayeli mutabani wa Netaniya, Yokanani ne Yonatani batabani ba Kareya, Seraaya mutabani wa Tanukumeti, ne batabani ba Efayi Abanetofati, Yezaniya mutabani w'Abamakati, abo n'abantu baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani ne Yonasaani batabani ba Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi, ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w’omu Maakasi, ne bagenda n’abasajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani ne Yonasaani batabani ba Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w'omu Maakasi, bo ne basajja baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisimayeli mutabani wa Netaniya, ne Yohanaani mutabani wa Kareya, ne Seraya mutabani wa Tanuhumeti ne batabani ba Efayi ow'e Netafa, ne Yezaniya ow'e Maaka, ne bagenda ne basajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani ne Yonasaani batabani ba Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w'omu Maakasi, bo n'abasajja baabwe.