Jeremiah 40:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, n'abalayirira, bo n'abantu baabwe bwe baali, nti: “Temutya kuweereza Bakaludeya; mukkalire mu nsi, muweereze kabaka w'e Babiloni, olwo mugenda kubeera bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’abalayirira bo n’abasajja baabwe ng’ayogera nti, “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mubeere mu nsi, muweereze kabaka w’e Babulooni munaaba bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani n'abalayirira bo n'abasajja baabwe ng'ayogera nti, “Temutya kuweereza Abakaludaaya, mubeere mu nsi, muweerezenga kabaka w'e Babbulooni, era munaabanga bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gedaliya n'abalayirira bo ne basajja baabwe ng'agamba nti: “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mukkalire mu nsi eno, muweereze kabaka wa Babilooniya, mujja kuba bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Gedaliya nutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n'abalayirira bo n'abasajja baabwe ng'ayogera nti Temutya kuweereza Abakaludaaya: mubeere mu nsi, muweerezenga kabaka w'e Babulooni, era munaabanga bulungi.