Jeremiah 41:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu mu mwezi ogwomusanvu, Yisimayeli mutabani wa Netaniya, mutabani wa Elisama, asibuka mu kabaka, eyali omu ku bagabe ba kabaka, yajja n'abasajja kkumi ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa. Bwe baali balya emmere awo e Mizupa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwezi ogw’omusanvu Isimayiri mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisaama, omu ku balangira ate nga ye omu ku bakulu b’eggye lya Yuda n’ajja n’abasajja kkumi eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa. Bwe baali nga balya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya, Nesaniya mutabani wa Erisama, ow'olulyo olulangira, era omu ku baami abakulu aba kabaka, najja ng'ali n'abasajja kkumi (10), eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, awo bwe baali baliira wamu emmere e Mizupa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwezi ogw'omusanvu mu mwaka ogwo, Yisimayeli, mutabani wa Netaniya, era muzzukulu wa Elisaama, ow'olulyo olulangira, era omu ku bakungu ba kabaka abakulu, n'agenda e Mizupa n'abasajja kkumi okulaba Gedaliya. Bwe baali eyo nga baliira wamu emmere,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisama, ow'oku zzadde lya kabaka, era omu ku baami abakulu aba kabaka, n'abasajja kkumi wamu naye, ne bajja eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa: awo ne baliira eyo emmere wamu e Mizupa.