Jeremiah 41:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma Yisimayeli abantu bonna abaali basigadde mu bantu b'e Mizupa, bawala ba kabaka n'abantu abalala e Mizupa Nabuzaradani omukulu w'abakuumi be yali akwasizza Gedaliya mutabani wa Akikamu okubalabirira, Yisimayeli mutabani wa Netaniya yabakwata n'agenda, n'asomoka okulaga mu Bammoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isimayiri n’awamba abantu bonna abalala abaali e Mizupa, abawala ba kabaka n’abalala bonna abaali basigaddeyo, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka Nebukadduneeza be yali awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu. Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abatwala nga bawambe ne yeetegeka okubasomosa okubatwala eri Abamoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isimaeri n'atwala nga basibe abo bonna abaafikkawo abaali mu Mizupa, abawala ba kabaka n'abantu bonna abaalekebwa e Mizupa, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa be yali ateresezza Gedaliya mutabani wa Akikamu. Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abatwala nga basibe, n'agenda okusomoka okugenda eri abaana ba Amoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bawala ba kabaka n'abantu bonna abaasigalawo e Mizupa, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye be yali alekedde Gedaliya okubalabirira, Yisimayeli n'abatwala nga basibe, n'akwata eriraga mu nsi y'Abammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isimaeri n'atwala nga basibe abo bonna abaafikkawo ku bantu abaali mu Mizupa, abawala ba kabaka n'abantu bonna abaali basigadde mu Mizupa, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa be yali ateresezza Gedaliya mutabani wa Nesaniya n'abatwala nga basibe, n'agenda okusomoka okugenda eri abaana ba Amoni.