Jeremiah 41:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yokanani mutabani wa Karewa n'abatabaazi bonna abaali naye, bwe baawulira eby'ettemu byonna Yisimayeli mutabani wa Netaniya bye yali akoze,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi bonna abaali naye bwe baawulira ebikolobero Isimayiri mutabani wa Nesaniya bye yali akoze,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye bwe baawulira obubi bwonna Isimaeri mutabani wa Nesaniya bwe yali akoze,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yohanaani mutabani wa Kareya, n'abakulu b'ebitongole ebyali naye, ne bawulira obutemu bwa Yisimayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye bwe baawulira obubi bwonna Isimaeri mutabani wa Nesaniya bwe yali akoze,