Jeremiah 41:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bakuŋŋaanya basajja baabwe bonna, ne bagenda okulwanyisa Yisimayeli mutabani wa Netaniya. Baamusanga mu lutobazzi olunene olw'e Gibewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne batwala abasajja baabwe bonna ne bagenda okulwanyisa Isimayiri mutabani wa Nesaniya. Ne bamutuukako okumpi n’amazzi amangi e Gibyoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale ne batwala abasajja baabwe bonna ne bagenda okulwana ne Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne bamusanga awali ekidiba ekinene ekiri mu Gibyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagenda ne basajja baabwe bonna, okulwanyisa Yisimayeli, ne bamusanga awali ekidiba ekinene e Gibiyoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale ne batwala abasajja bonna ne bagenda okulwana ne Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne bamusanga awali amazzi amangi agali mu Gibyoni.