Jeremiah 41:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna abaali ne Yisimayeli bwe baalaba Yokanani mutabani wa Karewa n'abatabaazi abaali naye, ne basanyuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna abaali ne Isimayiri bwe baalaba Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye be yali nabo, ne basanyuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka abantu bonna abaali ne Isimaeri bwe baalaba Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, ne basanyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasibe ba Yisimayeli bwe baalaba Yohanaani n'abakulu b'ebibinja ebyali naye, ne basanyuka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka abantu bonna abaali ne Isimaeri bwe baalaba Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, ne basanyuka.