Jeremiah 41:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka Yisimayeli mutabani wa Netaniya n'abatabaazi be omunaana badduka Yokanani, ne baddukira mu Bammoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Isimayiri mutabani wa Nesaniya ne basajja be munaana ne batoloka okuva ku Yokanaani ne bagenda mu ba Amoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Isimaeri mutabani wa Nesaniya, naatoloka ku Yokanani ng'alina abasajja munaana, n'agenda eri abaana ba Amoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yisimayeli ne basajja be ekinaana, ne basumattuka Yohanaani, ne baddukira mu nsi y'Abammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'awona Yokanani ng'alina abasajja munaana, n'agenda eri abaana ba Amoni.