Jeremiah 41:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yokanani mutabani wa Karewa n'abatabaazi bonna abaali naye, ne bakuŋŋaanya abantu bonna abaali basigaddewo Yisimayeli mutabani wa Netaniya be yali anyaze okuva e Mizupa ng'amaze okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu: abasajja, abakazi, abaana n'abakungu be yali aggye e Gibewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna abaali naye ne batwala abawambe okuva e Mizupa be baali baggye ku Isimayiri mutabani wa Nesaniya ng’amaze okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu: abaserikale, n’abakazi, n’abaana n’abakungu b’omu lubiri be yali aggye e Gibyoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye ne batwala ekitundu kyonna ekya bantu abali bafisseewo, Isimaeri mutabani wa Nesaniya, beeyali atutte nga basibe okuva e Mizupa, bwe yamala okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu, abasajja abalwanyi, abakazi, abaana abato, n'abalaawe, Yokanani be yali akomezaawo okuva e Gibyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yohanaani n'abakulu b'ebibinja ebyali naye ne balabirira abantu bonna, abaserikale, n'abakazi, n'abaana abato, n'abalaawe, Yisimayeli be yali atutte nga basibe okubaggya e Mizupa, ng'amaze okutta Gedaliya. Ne babakomyawo okuva e Gibiyoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye ne batwala ekitundu kyonna ekifisseewo ku bantu be yali akomezzaawo okubaggya ku Isimaeri mutabani wa Nesaniya, e Mizupa, bwe yamala okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu, abasajja abalwanyi n'abakazi n'abaana abato n'abalaawe be yakomyawo okuva e Gibyoni: