Jeremiah 41:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga badduka Abakaludeya. Baali babatya, kubanga Yisimayeli mutabani wa Netaniya yali asse Gedaliya mutabani wa Akikamu, kabaka w'e Babiloni gwe yali awadde okufuga ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
badduke Abakaludaaya. Baali batidde Abakaludaaya kubanga Isimayiri mutabani wa Nesaniya yali asse Gedaliya mutabani wa Akikamu, oyo kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga ensi nga gavana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olw'Abakaludaaya, kubanga baali babatidde, olwa Isimaeri mutabani wa Nesaniya eyatta Gedaliya mutabani wa Akikamu kabaka w'e Babbulooni gwe yali awadde okufuga ensi eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olw'okweraliikirira Abakaludaaya, be baatya, kubanga Yisimayeli mutabani wa Netaniya yali asse Gedaliya, kabaka wa Babilooniya gwe yali awadde okufuga ensi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olw'Abakaludaaya: kubanga baali babatidde, kubanga Isimaeri mutabani wa Nesaniya yatta Gedaliya mutabani wa Akikamu kabaka w'e Babulooni gwe yawa okufuga ensi.