Jeremiah 41:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisimayeli mutabani wa Netaniya n'abasajja be ekkumi ne basituka ne batta n'ekitala Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani; ne batta bwe batyo oyo kabaka w'e Babiloni gwe yali awadde okufuga ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja ekkumi abaali naye ne bayimuka ne batta Gedaliya, mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, n’ekitala, gavana, kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abasajja ekkumi (10) abaali naye, ne basituka ne bafumita Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani n'ekitala ne bamutta, oyo kabaka w'e Babbulooni gwe yali awadde okufuga ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisimayeli n'abasajja ekkumi ne basowolayo ebitala byabwe ne batta Gedaliya, kabaka wa Babilooniya gwe yali awadde okufuga ensi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'ayimuka n'abasajja ekkumi abaali naye ne bafumita Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n'ekitala ne bamutta, kabaka w'e Babulooni gwe yali awadde okufuga ensi.