Jeremiah 41:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisimayeli era n'atta Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa n'abatabaazi Abakaludeya abaasangibwayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isimayiri n’atta n’Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, n’abaserikale Abakaludaaya abaaliyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Isimaeri n'atta n'Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, awamu n'Abakaludaaya abalwanyi abaasangibwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisimayeli era n'atta n'Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, n'abaserikale Abakaludaaya abaasangibwayo
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Isimaeri n'atta n'Abayudaaya bonna abaali naye, abaali ne Gedaliya e Mizupa, n'Abakaludaaya abaalabika eyo, abasajja abalwanyi.