Jeremiah 41:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abasajja kinaana nga bamwedde ebirevu, ebyambalo byabwe nga biyulifuyulifu, nga beesaze emisale, baava e Sekemu, Silo ne Samariya nga baleese ebitone eby'obuwunga n'obubaani okubiweereza mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasajja kinaana abaali beemwedde ebirevu, nga bayuzizza engoye zaabwe era nga beesazeesaze, bajja okuva e Sekemu, ne Siiro ne Samaliya, nga baleese ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’obubaane eby’omu nnyumba ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abasajja kinaana (80) ne batuuka nga bava e Sekemu ne Siiro ne Samaliya, nga bamwedde ebirevu byabwe n'ebyambalo byabwe nga babiyuzizza, era nga beesaze emisale, nga baleese ebitone eby'empeke, era n'obubaane eby'okuwaayo mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abasajja kinaana ne batuuka nga bava e Sekemu n'e Siilo n'e Samariya. Baali bamweddeko ebirevu byabwe, nga bayuzizza ebyambalo byabwe, era nga beesaze emisale, nga baleese ebirabo eby'emmere ey'empeke, era n'obubaane eby'okuwaayo mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abamu ne bajja abaava e Sekemu ne Siiro ne Samaliya, abasajja kinaana, nga bamwereddwa ebirevu byabwe n'ebyambalo byabwe nga babiyuzizza, era nga beesaze, nga balina ebitone n'omugavu mu mukono gwabwe okubireeta mu nnyumba ya Mukama.