Jeremiah 41:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yisimayeli mutabani wa Netaniya n'afuluma e Mizupa okugenda okubasisinkana eno nga bw'agenda akaaba. Bwe yabatuukako n'abagamba nti: “Mujje eri Gedaliya mutabani wa Akikamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isimayiri omwana wa Nesaniya n’ava e Mizupa okubasisinkana ng’agenda bw’akaaba. Bwe yabatuukako, n’abagamba nti, “Mujje eri Gedaliya omwana wa Akikamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'ava mu Mizupa okubasisinkana, ng'agenda akaaba amaziga; awo olwatuuka bwe yasisinkana nabo, n'abagamba nti, “Mujje muyingire eri Gedaliya mutabani wa Akikamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisimayeli n'ava e Mizupa okubasisinkana, ng'agenda akaaba amaziga. Bwe yabatuukako, n'abagamba nti: “Mujje mulabe Gedaliya!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'ava mu Mizupa okubasisinkana, ng'agenda ng'akaaba amaziga: awo olwatuuka bwe yasisinkana nabo, n'abagamba nti Mujje eri Gedaliya mutabani wa Akikamu.