Jeremiah 41:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka mu kibuga, Yisimayeli mutabani wa Netaniya n'abasajja be yali nabo ne baddira abantu bali ne babatta, ne babasuula mu luzzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka mu kibuga, Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja be ne batta abamu ku basajja abo, ne babasuula mu kinnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baatuuka wakati mu kibuga, Isimaeri mutabani wa Nesaniya, n'abasajja abaali naye, n'abatta bonna n'ebasuula emirambo gyabwe mu luzzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwali okutuuka mu kibuga wakati, Yisimayeli ne basajja be ne babatta, ne basuula emirambo gyabwe mu luzzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baatuuka wakati mu kibuga, Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abatta n'abasuula wakati mu bunnya ye n'abasajja abaali naye.