Jeremiah 41:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka kkumi ku bo ne bagamba Yisimayeli nti: “Totutta kubanga tulina ebitereke by'eŋŋano, sayiri, omuzigo n'omubisi gw'enjuki ebikwekeddwa mu nnimiro.” Abo n'abaleka n'atabatta wamu ne bannaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kkumi ku bo ne bagamba Isimayiri nti, “Totutta! Tulina eŋŋaano ne sayiri, n’omuzigo, n’omubisi gw’enjuki, tubikwese mu nnimiro.” Awo ne babaleka ne batabattira wamu na bali abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu bo mwalimu abasajja kkumi (10) abaagamba Isimaeri nti, “Totutta, kubanga tulina; eŋŋaano ne sayiri, n'amafuta, n'omubisi gw'enjuki ebikwekeddwa mu nnimiro.” Awo n'atabattira wamu ne baganda baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu bo mwalimu abasajja kkumi abaagamba Yisimayeli nti: “Tukwegayiridde, totutta. Tulina eŋŋaano ne bbaale, n'omuzigo gw'emizayiti, n'omubisi gw'enjuki ebikwekeddwa mu nnimiro.” Bo n'abaleka, n'atabatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne mulabika mu bo abasajja kkumi abaagamba Isimaeri nti Totutta: kubanga tulina ebintu ebyaterekebwa ebyakisibwa mu nnimiro, eŋŋaano ne sayiri, n'amafuta, n'omubisi gw'enjuki. Awo n'atabattira wamu ne baganda baabwe.