Jeremiah 41:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluzzi Yisimayeli mwe yasuula emirambo gyonna egy'abasajja be yali asse lwali luwanvu; lwe luulwo kabaka Asa lwe yali asimye okwetaasa Basa kabaka wa Yisirayeli; omwo Yisimayeli mutabani wa Netaniya mwe yajjuza abattibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekinnya mwe baasuula emirambo gy’abasajja bonna be battira awamu ne Gedaliya, kye kiri kabaka Asa kye yali asimye ng’alwanyisa Baasa kabaka wa Isirayiri. Isimayiri mutabani wa Nesaniya yakijjuza abafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oluzzi Isimaeri mwe yasuula emirambo gyonna egy'abasajja be yatta, lwe luzzi olugazi kabaka Asa kabaka lwe yali asimye, okwetaasa bwe yalumbibwa Baasa kabaka wa Isiraeri, Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'alujjuza emirambo egy'abo abattibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluzzi Yisimayeli mwe yasuula emirambo gy'abasajja be yatta, lwe lugazi, kabaka Asa lwe yali asimye, bwe yalumbibwa Baasa, kabaka wa Yisirayeli. Yisimayeli n'alujjuza emirambo gy'abo abattibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era obunnya Isimaeri mwe yasuula emirambo gyonna egy'abasajja be yatta, okuliraana Gedaliya, (bwe buli Asa kabaka bwe yasima olw'okutya Baasa kabaka wa Isiraeri,) Isimaeri mutabani wa Nesaniya n'abujjuza abo abattibwa.