Jeremiah 42:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Bwe mukkiriza okusigala mu nsi muno, ŋŋenda kubazimba, siribazimbulula; ŋŋenda kubasimba, sigenda kubasimbula, kubanga nejjusa akabi ke nabakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olw’ekikangabwa kye mbatuusizzaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mulikkiriza okubeera mu nsi eno, kale ndibazimba, so siribaabya, era ndibasimba, so siribasimbula, kubanga nejjusizza obubi bwe nnabakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Bwe mukkiriza okubeeranga mu nsi eno, ndibanyweza ne sibayuuyayuuya, kubanga akabi ke nabatuusaako, kannakuwazizza nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mulikkiriza okubeera mu nsi eno, kale ndibazimba, so siribaabya, era ndibasimba, so siribasimbula: kubanga nejjusizza obubi bwe nnabakola.