Jeremiah 42:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kutya kabaka w'e Babiloni, oyo kati gwe mutya; temumutya, Omukama y'agamba, kubanga ndi nammwe; nzija kubawonya mbaggye mu mikono gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temutya kabaka w’e Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bw’ayogera Mukama, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temutya kabaka w'e Babbulooni, oyo gwe mweralikirira; temumutya, bw'ayogera Mukama, kubanga nze ndi wamu nammwe okubalokola n'okubawonya mu mukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulekere awo okutya kabaka wa Babilooniya, kubanga Nze ndi wamu nammwe okubawonya n'okubaggya mu mikono gye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temutya kabaka w'e Babulooni gwe mutya; temumutya, bw'ayogera Mukama: kubanga nze ndi wamu nammwe okubalokola n'okubawonya mu mukono gwe.