Jeremiah 42:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oba ne mugamba nti: “Nedda, tujja kugenda mu nsi y'e Misiri, gye tutagenda kulaba ku lutalo na kuwulira ku ddoboozi lya ŋŋombe yadde okulumirwa emmere enjala,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogw’okulya,’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga mwogera nti, ‘Nedda; naye tuligenda mu nsi y'e Misiri gye tutalirabira ntalo, era gye tutaliwulirira ddoboozi lya kkondeere, wadde okulumwa enjala; eyo gye tulituula;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa mugamba nti: ‘Nedda, tujja kugenda mu nsi y'e Misiri tubeerenga eyo, gye tutajja kusanga lutalo, oba okuwulira eŋŋoma ezirawa, era gye tutalifiira njala,’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mwogera nti Nedda; naye tuligenda mu nsi y'e Misiri gye tutalirabira ntalo, so tetuliwulira ddoboozi lya kkondeere, so tetulirumwa njala olw'emmere; n'eyo gye tulituula: