Jeremiah 42:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
awo nno, mmwe abasigaddewo mu Yuda, muwulire ekigambo ky'Omukama. Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: “Bwe mumalirira okugenda mu Misiri, ne mugenda ne mubeera eyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafisseewo ku Yuda,” bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, bwe muba nga mumaliridde ddala okuyingira mu Misiri, era ne mugenda okubeera omwo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale mmwe abasigaddewo mu Buyudaaya, muwulire kino. Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Oba nga mumaliridde okugenda e Misiri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafisseewo ku Yuda: bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Bwe mulikakasa amaaso gammwe ddala okuyingira mu Misiri, ne mugenda okubeera omwo;