Jeremiah 42:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekitala kye mutya kigenda kubasangayo eyo mu Misiri, n'enjala ebeeraliikiriza egenda kubalondoolayo eyo mu Misiri; gye mulifiira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale olulituuka ekitala kye mutya kiribakwatira eyo mu nsi y'e Misiri, n'enjala gye mutidde eribacoccera eyo mu Misiri; era eyo gye mulifiira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olutalo lwe mutya lulibasanga eyo. N'enjala gye mweraliikirira eribagoberera, era mulifiira eyo mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale olulituuka ekitala kye mutya kiribakwatira eyo mu nsi y'e Misiri, n'enjala gye mutidde eribacoccera eyo mu Misiri; era eyo gye mulifiira.