Jeremiah 42:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna abagugubidde ku kugenda e Misiri n'okubeerayo, gye balifiira ekitala, enjala ne kawumpuli; tewaliba asumattuka, aliwona kabenje ke ndibaleetera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja bonna abamaliridde okugenda e Misiri okubeera eyo; balifa n'ekitala, n'enjala, ne kawumpuli; so tewaliba ku bo abalifikkawo wadde abaliwona bwe ndibaleetako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abamaliridde okugenda e Misiri okubeera eyo, balifiira mu lutalo, oba balifa enjala, oba endwadde. Tewaliba n'omu ku bo aliwonawo. Tewaliba n'omu awona kabi ke ndibatuusaako.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kityo bwe kiriba eri abasajja bonna abakakasa amaaso gaabwe okugenda e Misiri okubeera eyo; balifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: so tewaliba ku bo abalifikkawo newakubadde okuwona obubi bwe ndibaleetako.