Jeremiah 42:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Ng'obusungu n'obuswandi bwange bwe bwebunduggula ku baali mu Yeruzaalemu, bwe butyo obusungu bwange bwe bulibeebunduggulako bwe muligenda e Misiri. Mulibeera ekikolimo, ekintu eky'entiisa, ekivumo era eky'okusekerera; era temuliddayo kukuba liiso ku kifo kino.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, nga obusungu bwange n'ekiruyi kyange bwe byafukibwa ku abo abaali mu Yerusaalemi, ekiruyi kyange bwe kirifukibwa ku mmwe bwe kityo, bwe muliyingira mu Misiri; muliba ekikyayibwa, ekitiisa, ekikolimo n'ekyewuunyo, so temuliraba nate kifo kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nga bwe nasunguwalira ennyo abantu b'omu Yerusaalemu, bwe ntyo bwe ndibasunguwalira ennyo mmwe, singa mugenda e Misiri. Muliba kyenyinyalwa, abantu balibanyooma, balikozesa erinnya lyammwe nga bakolima, era temuliddayo kulaba kifo kino.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Obusungu bwange n'ekiruyi kyange nga bwe byafukibwa ku abo abaali mu Yerusaalemi, ekiruyi kyange bwe kirifukibwa ku mmwe bwe kityo bwe muliyingira mu Misiri: era muliba kikolimo n'ekyewuunyo n'okukolima n'ekivume; so temuliraba nate kifo kino.