Jeremiah 42:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya omulanzi nga bagamba nti: “Tukwegayiridde, wuliriza bulungi okuwanjaga kwaffe, otusabire ew'Omukama Katonda wo olw'abasigaddewo bano bonna, kubanga, nga naawe bw'olaba, tusigadde batono ffe abaali abangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe Mukama Katonda wo ku lw’abantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bw’olaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bagamba Yeremiya nnabbi nti, “Tukwegayiridde, okusaba kwaffe kukkirizibwe gyoli, otusabire eri Mukama Katonda wo, ng'osabira ffe ffenna abasigaddewo; kubanga tusigaddewo batono fekka abaabanga abangi ng'amaaso go bwe gatulaba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bajja ne bagamba Yeremiya omulanzi nti: “Tukwegayiridde okole kye tukusaba. Tusabire eri Mukama, Katonda waffe, osabire ffe ffenna abasigaddewo, kubanga abaabanga abangi, otulaba tusigadde batono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne basembera ne bagamba Yeremiya nnabbi nti Tukwegayiridde, okusaba kwaffe kukkirizibwe gy'oli, otusabire eri Mukama Katonda wo, ng'osabira ekitundu kino kyonna ekifisseewo; kubanga tusigaddewo batono fekka abaabanga abangi ng'amaaso go bwe gatulaba: