Jeremiah 42:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti mwawaba mu mitima gyammwe bwe mwantuma eri Omukama Katonda wammwe nga muŋŋamba nti: “Tusabire ew'Omukama, Katonda waffe; tubuulire kyonna Omukama, Katonda waffe ky'anaaba alagidde, tujja kukituukiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri Mukama Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe: tubuulire byonna by’agamba tujja kubikola.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mukoze eby'obukuusa era mutunze obulamu bwammwe, kubanga mwantuma eri Mukama Katonda wammwe nga mwogera nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe; era nga byonna bwe biriba Mukama, Katonda waffe by'alyogera, naffe tulibikola;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nti musobezza nnyo okuba abakuusa, kubanga mwantuma okubasabira eri Mukama, Katonda waffe, nga mugamba nti: ‘Tusabire eri Mukama, Katonda waffe, era buli ky'anaddamu okitubuulire, ffe tujja kukikola.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mukoze emmeeme zammwe mmwe eby'obukuusa; kubanga mwantuma eri Mukama Katonda wammwe nga mwogera nti Tusabire eri Mukama Katonda waffe; era nga byonna bwe biriba; Mukama Katonda waffe by'alyogera, tubuulire bw'otyo, naffe tulibikola: