Jeremiah 42:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate bwe nkibabuulidde olwa leero, temuwulirizza ddoboozi lya Mukama, Katonda wammwe ku ebyo byonna by'antumye gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbabuulidde leero, naye era temugondedde Mukama Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era leero mbibabuulidde; naye temugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe mu byonna by'antumye gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano mbibategeezezza, naye mujeemedde byonna Mukama Katonda wammwe byantumye okubategeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era leero mbibabuulidde; naye temugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe mu kyonna ky'antumye gye muli