Jeremiah 42:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mumanyire ddala nga muli ba kufiirayo ekitala, enjala ne kawumpuli, eyo gye mwesiimidde okugenda okubeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno mutegeerere ddala nga mulifa n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, mukifo gye mwagala okugenda okubeera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mutegeerere ddala nti mujja kufiira mu lutalo, oba okufa enjala, oba endwadde mu nsi gye mwagala okugenda okubeeramu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno mutegeerere ddala nga mulifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, mu kifo gye mwagala okugenda okubeera.