Jeremiah 42:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya omulanzi n'abaddamu nti: “Mpulidde; kale nzija kubasabira eri Omukama Katonda wammwe nga bwe musabye; Omukama ky'anaaba ayanukudde, nzija kukibategeeza; sijja kubakisa kantu na kamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi Yeremiya n’abagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri Mukama Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna Mukama by’anaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya nnabbi n'abaddamu nti, “Mbawulidde; laba, nja kusaba Mukama Katonda wammwe nga bwe mugambye; kale olulituuka kyonna Mukama ky'alibaddamu ndikibabuulira; siribakisa kigambo kyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yeremiya omulanzi n'abaddamu nti: “Mbiwulidde. Kale nja kusaba Mukama, Katonda waffe nga bwe mugambye, era buli ky'anaddamu, nja kukibategeeza. Sijja kubaako kye mbakisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya nnabbi n'abagamba nti Mbawulidde; laba, naasaba Mukama Katonda wammwe ng'ebigambo byammwe bwe biri; kale olulituuka kyonna Mukama ky'alibaddamu ndikibabuulira; siribakisa kigambo kyonna.