Jeremiah 42:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabo ne bagamba Yeremiya nti: “Omukama y'aba abeera omujulirwa waffe ow'amazima era omwesigwa era atulumirize singa tetuukole nga Omukama Katonda wo bw'anaaba akutumye gye tuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagamba Yeremiya nti, “ Mukama abeere omujulirwa ow’amazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna Mukama Katonda wo ky’anaakutuma okutugamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abe omujulizi ow'amazima era omwesigwa gyetuli, bwe tutalikola ng'ekigambo kyonna Mukama, Katonda wo ky'alikutuma gyetuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagamba nti: “Mukama abe omujulizi omutuufu era ow'amazima, atulumiriza omusango, bwe tutalikola byonna Mukama, Katonda waffe by'anaakutuma okutugamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bagamba Yeremiya nti Mukama abe omujulirwa ow'amazima omwesigwa mu ffe, bwe tutalikola ng'ekigambo kyonna bwe kiriba Mukama Katonda wo ky'alikutuma gye tuli.