Jeremiah 42:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Karewa, n'abagabe b'eggye bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye lya Yuda bonna abaali naye, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'ayita Yohanaani n'abakulu b'ebibinja bonna abaali naye, n'abantu abalala bonna
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu,