Jeremiah 43:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya bwe yasirissa okubuulira abantu ebigambo byonna eby'Omukama Katonda waabwe, ebyo Omukama Katonda waabwe bye yali amutumye okubabuulira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo byonna Mukama Katonda waabwe bye yamutuma okubagamba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera n'abantu bonna ebigambo byonna ebya Mukama Katonda waabwe, Mukama Katonda waabwe bye yali amutumye gyebali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mmaliriza okutegeeza abantu byonna Mukama Katonda bye yantuma okubategeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera n'abantu bonna ebigambo byonn, ebya Mukama Katonda waabwe Mukama Katonda waabwe bye yali amutumye gye bali, bye bigambo ebyo byonna,