Jeremiah 43:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo obagambe nti: ‘Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: “Nzija kutumya omuweereza wange Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni; alissa nnamulondo ye ku mayinja gano ge nziise wano; ku go alyanjululizaako manvuuli ye.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditumya omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, era nditeeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nziise wano. Ku go kwalikuba eweema ye ey’obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
obagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndituma ne nzirira Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, omuddu wange, ne nteeka entebe, ye ku mayinja gano ge nkwese; era alitimba eweema ye eya kabaka ku go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
obagambe nti Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nja kutumya omuweereza wange Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya, ajje ateeke entebe ye ey'obwakabaka ku mayinja gano ge nziise, era atimbe eweema ye eya kabaka ku go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndituma ne nzirira Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni omuddu wange, ne nteeka entebe ye ku mayinja gano ge nkwese; era alitimba eweema ye eya kabaka ku go.