Jeremiah 43:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Agenda kwokya omuliro amasabo ga balubaale b'e Misiri; alyokya ebiggya byabwe balubaale n'abasiba. Ng'omusumba bwe yeezingira omunagiro gwe, naye bw'alyezingira Misiri n'akumba, n'agenda mu ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda b’e Misiri, n’abatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ng’omulunzi w’endiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bw’atyo bw’alyezingirira ensi y’e Misiri n’avaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alikuma omuliro mu nnyumba za bakatonda b'e Misiri; era alibookya n'abatwala nga basibe, era alirongoosa ensi y'e Misiri ng'omusumba bw'alongoosa ekyambalo kye, okukiggyamu obuwuka, era alivaayo mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndikuma omuliro mu masabo ga balubaale b'e Misiri, era kabaka wa Babilooniya, balubaale alibookya, oba alibasibako n'abatwala. Ng'omusumba bw'ayonja olugoye lwe ng'alondalondamu ensekere n'azimalamu, ne kabaka wa Babilooniya bw'atyo bw'alireka alonzelonze buli kantu mu Misiri, n'agitukuza, n'alyoka agenda, nga tewali amukuba ku mukono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikuma omuliro mu nnyumba za bakatonda b'e Misiri; era alibookya n'abatwala nga basibe: era alyambala ensi y'e Misiri ng'omusumba bw'ayambala ekyambalo kye; era alivaayo mirenbe.