Jeremiah 43:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Azariya mutabani wa Osaaya, Yokanani mutabani wa Karewa n'abantu bonna ab'olunkulu ne bagamba Yeremiya nti: “Oyogera bya bulimba. Omukama tannakutuma kutugamba mbu: ‘Temugenda Misiri kubeera eyo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba! Mukama Katonda wo takutumye kugamba nti, ‘Temugenda Misiri kusenga eyo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanani mutabani wa Kaleya n'abasajja bonna ab'amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba, Mukama Katonda waffe takutumye kwogera nti, ‘Temugenda Misiri okubeera eyo;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Azariya mutabani wa Osaaya, ne Yohanaani mutabani wa Kareya, n'abasajja bonna abeekulumbaza, ne baŋŋamba nti: “Olimba! Mukama, Katonda waffe takutumye kutugamba nti: ‘Temugenda Misiri okubeera eyo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanani mu tabani wa Kaleya n'abasajja bonna ab'amalala ne boogera nga bagamba Yeremiya nti Olimba: Mukama Katonda waffe takutumye okwogera nti Temuyingiranga mu Misiri okubeera omwo: