Jeremiah 43:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yokanani mutabani wa Karewa n'abagabe bonna ab'eggye n'abantu bonna ne bagaana okuwulira eddoboozi ly'Omukama okusigala mu nsi ya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye bonna n’abantu bonna ne bajeemera ekiragiro kya Mukama eky’okusigala mu nsi ya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole n'abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Mukama okusigala mu nsi ya Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo Yohanaani n'abakulu b'ebibinja bonna, n'abantu abalala bonna, ne batawulira Mukama ky'abalagidde, okusigala mu nsi Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole n'abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Mukama okubeera mu nsi ya Yuda.