Jeremiah 43:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yokanani mutabani wa Karewa abagabe bonna ab'eggye ne batwala abaali basigaddewo mu Yuda yenna abaali bakomyeewo okubeera mu nsi ya Yuda nga bava mu mawanga abantu gye baali basaasaanidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye ga Yuda bonna ne bakulembera abantu ba Yuda abaali basigaddewo nga bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali baddukidde okubeera mu nsi ya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole ne batwala ekitundu kyonna ekya Yuda, abaafikkawo abaali bakomyewo okubeera mu Yuda, okuva mu mawanga gonna gye baali babagobedde;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yohanaani n'abakulu b'ebibinja bonna, ne batwala e Misiri abantu bonna abaali balekeddwa mu Buyudaaya, wamu n'abo abaali bakomyewo okuva mu mawanga gye baali basaasaanidde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole ne batwala ekitundu kyonna ekya Yuda abaafikkawo abaali bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali babagobedde okubeera mu nsi ya Yuda;