Jeremiah 43:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baatwala abasajja, abakazi, abaana, bawala ba kabaka n'abantu bonna Nebuzaradani omugabe w'abakuumi be yali alese ne Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, ko ne Yeremiya omulanzi ne Baruku mutabani wa Neriya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batwala n’abasajja bonna, n’abakazi n’abaana n’abawala ba kabaka, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni be yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abasajja, n'abakazi n'abaana abato n'abawala ba kabaka, na buli muntu Nebuzaladaani omukulu w'abambowa gwe yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani, ne Yeremiya nnabbi ne Baluki mutabani wa Neriya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abasajja, n'abakazi, n'abaana abato, ne bawala ba kabaka. Ne batwala bonna, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye be yali alekedde Gedaliya okubalabirira, omwali Baruku, nange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abasajja n'abakazi n'abaana abato n'abawala ba kabaka na buli muntu Nebuzaladaani omukulu wa bambowa gwe yalekera Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, ne Yeremiya nnabbi ne Baluki mutabani wa Neriya;