Jeremiah 43:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne balaga bwe batyo mu nsi y'e Misiri, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama. Ne batuuka e Takupanikesi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bayingira e Misiri nga bajeemedde Mukama, ne bagenda okutuukira ddala e Tapaneese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bayingira mu nsi ye Misiri, kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama, ne batuuka e Tapanesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bajeemera ekya Mukama kye yabalagira, ne bayingira mu nsi y'e Misiri, okutuukira ddala ne mu kibuga Tapaneesi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bayingira mu nsi y'e Misiri; kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama: ne batuuka n'e Tapanesi.