Jeremiah 43:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu maaso g'Abayudaaya kwata amayinja amanene ogaziike mu budongo mu luggya lw'amataffaali awayingirirwa mu lubiri lwa Faraawo e Takupanikesi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Twala amayinja amanene ogaziike mu bbumba mu lubalaza olw’amatoffaali ku mulyango gw’olubiri lwa Falaawo e Tapaneese, ng’Abayudaaya bonna balaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Twala mu mikono gyo amayinja amanene, ogakweke mu ttaka ery'omu matoffaali agali awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo e Tapanesi, nga abasajja ba Yuda balaba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ddira amayinja amanene ogaziike mu matoffaali agali awayingirirwa mu lubiri lwa kabaka, wano e Tapaneesi, ng'abamu ku Bayudaaya bakulaba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddira amayinja amanene mu mukono gwo ogakweke mu ttaka ery'omu matoffaali agali awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo e Tapanesi, abasajja ba Yuda nga balaba