Jeremiah 44:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'okutuusa ku lunaku lwa leero tebannaba kwenenya yadde okutya, era tebatambulira mu tteeka lyange ne mu biragiro byange bye nalangirira gye muli mwenna n'eri bajjajjammwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’okutuusa leero tebeetoowazizza wadde okutya, wadde okugondera amateeka gange n’ebiragiro bye nabateekerawo mmwe ne bajjajjammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tebannetoowaza n'okutuusa kaakano so tebannatya, wadde okutambulira mu mateeka n'ebiragiro byange bye nnateeka mu maaso gammwe ne mu maaso ga bajjajjammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye n'okutuusa kaakano temunnaggwaamu kwekulumbaza. Temunnanzisaamu kitiibwa, wadde okukolera ku mateeka gange, ge nabawa mmwe ne bajjajjammwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebannaba kumalwamu malala ne leero, so tebannatya, so tebatambulidde mu mateeka gange newakubadde mu biragiro byange bye nnateeka mu maaso gammwe ne mu maaso ga bajjajjammwe.