Jeremiah 44:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ‘Mbataddeko eriiso lwa kabi n'olw'okusaanyaawo Yuda yenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mmaliridde okubazikiriza mmwe ne Yuda yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti, “Laba, nditeeka amaaso gange okuboolekera olw'obubi, okuzikiriza Yuda yenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nja kubatunuuliza bukambwe, nzikirize Buyudaaya yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndikakasa amaaso gange okuboolekera olw'obubi, okuzikiriza Yuda yenna.