Jeremiah 44:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kutwala abaasigalawo mu Yuda, abantu abaasalawo okujja mu nsi y'e Misiri babeere eyo; bonna balisaanirawo eyo mu nsi y'e Misiri; balifa ekitala oba enjala. Okuva ku muto okutuuka ku mukulu balifa ekitala oba enjala ne bafuuka ekikolimo, ekintu eky'entiisa, ekivumo era ekintu eky'okusekerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiggyawo abaasigalira mu Yuda abaamalirira okugenda e Misiri okusenga eyo. Bonna balizikiririra mu Misiri, balifa ekitala oba enjala. Okuva ku muto okutuuka ku mukulu asingayo balifa era balifuuka ekyenyinyalwa n’eky’okusekererwa era n’okukolimirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndiddira ekitundu kya Yuda ekifisseewo abamaliridde okugenda mu nsi y'e Misiri okutuula eyo, era bonna balimalibwawo; mu nsi y'e Misiri; mwe balizikiririra, balimalibwawo n'ekitala n'enjala; balifa, okuva ku muto okutuuka ku mukulu, balifa n'ekitala n'enjala, era baliba ekikyayibwa, ekitiisa, ekikolimo n'ekyewuunyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abantu ba Buyudaaya abasigaddewo ne bamalirira okugenda okubeera mu nsi y'e Misiri, nja kubasaanyaawo. Bonna abakulu n'abato, balifiira mu nsi y'e Misiri, nga battirwa mu lutalo oba nga bafa enjala. Baliba ekyenyinyalwa, era ekinyoomebwa. Abantu banaabavumanga, era banaabayitanga ekikolimo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndiddira ekitundu kya Yuda ekifisseewo abakakasizza amaaso gaabwe okuyingira mu nsi y'e Misiri okutuula omwo, era bonna balimalibwawo; mu nsi y'e Misiri mwe baligwira; balimalibwawo n'ekitala n'enjala; balifa, okuva ku muto okutuuka ku mukulu, n'ekitala n'enjala: era baliba kikolimo n'ekyewuunyo n'okukolima n'ekivume.