Jeremiah 44:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubonereza ab'omu nsi y'e Misiri n'ekitala, enjala ne kawumpuli nga bwe nabonereza ab'omu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibonereza abo ababeera mu Misiri, bafe ekitala, n’enjala ne kawumpuli, nga bwe nabonereza Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndibonereza abo abatuula mu nsi y'e Misiri nga bwe nnabonereza Yerusaalemi, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibonereza abo ababeera mu nsi y'e Misiri, nga bwe nabonereza Yerusaalemu, nga nkozesa olutalo, n'enjala, n'endwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndibonereza abo abatuula mu nsi y'e Misiri nga bwe nnabonereza Yerusaalemi, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: