Jeremiah 44:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku baasigalawo mu Yuda abajja okubeera mu Misiri temuliba bakaawonawo wadde abalisumattuka abalisobola okudda mu nsi ya Yuda gye balumirwa okudda n'okubeera; si ba kuddayo, mpozzi ababudami abatono.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali n’omu ku baasigalawo mu Yuda eyaddukira e Misiri, aliwona oba alisigalawo okudda mu nsi ya Yuda, gye beegomba okudda, tewali aliddayo okuggyako abatono ennyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'ekityo tekuliba ku kitundu kya Yuda ekifisseewo abaagenda mu nsi y'e Misiri okutuula eyo, aliwona wadde alisigalawo, oba okudda mu nsi ya Yuda gye baayagala okudda okubeera; kubanga tewaliba abalikomawo wabula abo abalidduka akabi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku bantu b'omu Buyudaaya abasigaddewo, ne bagenda okubeera mu nsi y'e Misiri, tekuliba awonawo wadde asigalawo. Tekuliba alikomawo mu Buyudaaya gye beegomba okudda okubeera. Tewaliba akomawo okuggyako abatono abalidduka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne ku kitundu kya Yuda ekifisseewo abambuse okugenda mu nsi y'e Misiri okubeera omwo ne kutabaako aliwona newakubadde alisigalawo, balyoke bakomewo mu nsi ya Yuda gye baayagala okudda okubeera: kubanga tewaliba abalikomawo wabula abo abaliwonya obuwonyi.